Jump to content

Ingrid Turinawe

Bisangiddwa ku Wikipedia
Ingrid Turinawe
Mukyala munna byabufuzi aweereza nga ssentebe w'abakyala mu kibiina ekivuganya gavumeenti ya Uganda ekya FDC.Era aweereza nga ssaabakunzi w'ekibiina kya FDC ow'eggwanga lyonna.Yazaalibwa 23 musenene 1973 Kyusa Wikidata
Omuntu Kyusa Wikidata
Ekikulamukyala Kyusa Wikidata
Ensi y’o­bu­tuu­zeUganda Kyusa Wikidata
Erinnya eri­wee­redd­waIngrid Kyusa Wikidata
Yazaa­lib­wa nga23 Gwakkuminogumu(Museenene) 1973 Kyusa Wikidata
Gy'a­zaal­waKanungu Kyusa Wikidata
Ennimi z'amanyiLungereza Kyusa Wikidata
Omulimumunnabyabufuzi Kyusa Wikidata
Gyeya­so­me­raNkumba University Kyusa Wikidata
GyabeeraKampala Kyusa Wikidata
Ebbanga ly'a­ko­led­de (oku­tan­di­ka)1998 Kyusa Wikidata
Mmemba w’e­ki­bii­na ky’e­byo­bu­fu­ziForum for Democratic Change Kyusa Wikidata

Ingrid Kamateneti Turinawe amannyiddwa ennyo nga Ingrid Turinawe yazaalibwa nga 23/11/1973,ye munnabyabufuzi omukyala aweerezanga ssentebe w’ekibiina ky’abakyala kuludda oluvugannya gavumenti mu Uganda mu  kibiina kya ’’Forum for Democratic  change’’ (FDC). Era aweereza nga ssaabakkunzi mu by’obufuzi mu ggwanga lyonna mu kibiina kya FDC.[1]

Ebimukwatako n'okusoma kwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Yazaalibwa Jane Bakesiga ne Stanely Bakwatilenda ( Yafa mu 1982) nga 23/11/1973 ku kyalo Kashojwa , mu ggombolola ye Rugyeyo mu disitulikiti kati emayiddwa nga Kannungu nga tebannagikutula ku Rukungiri. Waakuna mu baana ba nnyina omwenda be yazaala nga ku bbo abataano balenzi ate abanna bawala.


Ppulayimale yagisomera ku Rugyeyo Primary school gyeyava nagenda ku kinyasano Girls High school gyeyamalira  amadaala gombi ‘’O’’  Ne ‘’A’’. Oluvannyuma yeegatta ku ttendekero ly’abasomesa erya kabala (National teachers college) gyeyafunira dipulooma mu by'enjigiriza. Era yafuna diguli esooka okuva ku Nkumba university eya ‘’public admistration and management’’

Mu luwummula lwe oluwanvu nga amaliriza siniya ey'omukaaga mu 1992, Ingrid yafumbirwa Jackson Turinawe, omusajja omututumufu mu by'obusuubuzi mu kabuga k'eRukungiri . Nga amalirizza dipulooma ye e Kabale , Ingrid yasomesaayo omwaka gumu era oluvannyuma ne yeegatta ku bbaawe mu by'obusuubuzi nga amuyambako okuddukanya ettundiro ly'abwe ery'eddagala mu kabuga k'eRukungiri. Mu 1998, yalondebwa okukiikirira amagombolola g'eBuhunga ne Ruhinda ku lukiiko lw'e Rukungiri.

Mu 2001, yaddamu n'alondebwa ku lukiiko. Mu 2003, Kanungu yasalibwa ku Rukungiri. Nga wayiseewo omwaka, Ingrid Turinaawe yafuuka omwogezi wa disitulikiti ye Rukungiri oluvannyuma lw'e yali omwogezi, George Owakiroru, okusibibwa olw'okuteeberezebwa okukola obutujju. Yaweereza omulimu ogwo paka mu 2006. Yatandikawo ekibiina kya FDC mu 2005.

Mu 2005, Ingrid yayawukana ne bbaawe ow'emyaka 13 Jackson Turinawe naye teyafuna kwawukana kwa mu mateeka. Yasenga mu Kampala, ekibuga ekikulu mu Uganda. Mu 2006, y'esimbawo ku bw'obukulembeze bw;abakyala mu palamenti e Rukungiri era naddamu okwesimbawo ku kifo kye kimu naye emirundi gyona nga agwa.

Nga 20/04/2012, Ingrid yali avuga e Nansana, akatundu mu Kampala, okubaayo mu kunoonya akalulu,awo poliisi we yamulemeseza era akannyolagano wekatuukirawo,mu kaseera ako, omusirikale n'amubaka ebbeere ku kifuba. Yakuba police mu mbuga z'amateeka n'omuwolerezza wa gavumenti olwo obulumi, okubonabona n'okuswazibwa kw'olukale, ebibalibwamu obukadde 560 obwa Uganda (bubalibwamu dollar 160,000 eza US), ng'omutemwa gw'okusasula obuvune n'okukosebwa. Gavumenti ya Uganda yamwetondera mu lujjudde ate omusango ne gugwera wabweru w'embuga z'amateeka.

Mu gwookubiri 2017, Ingrid yeesimbawo ku bifo ebimu ku East Afican Legislative Assembly etuula mu Arusha, Tanzania.

  1. {{cite web}}: Empty citation (help)